Omwaka 2017 buli omu yaguyingira asuubira bingi naye gwagenze okugwaako ng’abantu balemeddwa era bagwevuma.

Abamu kubbo mwemuli ne DJ Alberto Alipacho owa Club Guvnor ne Amsta sounds era embeera yagaanye nasalawo okudda mukyalo.

Okusinzira abamu ku mikwano gye, DJ Alberto abadde asukiridde okuganza abakyala abenjawulo omuli obuwala obuto n’abakazi abakadde kyokka mu kiseera kino tewali wadde eyinza kumujjukira.

 

DJ Alberto okwagala ennyo okunyenya ensigo, y’emu ku nsonga lwaki Kampala yamulemye era mu kiseera kino yazzeeyo mu kyalo.