Abantu 2 bafiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Bujjuko ku luggudo lwe Mityana enkya ya leero.

Okusinzira ku Poliisi, akabenje kavudde ku motooka 2 nga zonna zidda mu kibuga Kampala, loole namba UAM 459M, bwe yetomedde ne Takisi, nga zonna ziva Mityana okudda mu Kampala era zonna nezigwa ebbali w’ekkubo.

Kigambibwa abamu ku bafudde kuliko Robert Kawuma abadde avuga takisi era akutuseeko amaggulu.

Ku nsonga eyo, Charles Sebambulide omwogezi wa Poliisi y’ebiduuka mu kitundu ky’e Mityana, agambye nti bakawonawo batwaliddwa mu ddwaliro okufuna obujanjabi naye nga bali mu mbeera mbi nnyo.