Abantu abasuuka mu 70 bazikiddwa mu ntaana emu mu ggwanga erya Nigeria mu ssaaza lye Benue.

Abazikiddwa batiddwa mu kulwanagana okwabaddewo wakati w’abalunzi b’ente n’abalimi mu masaza agenjawulo okuli Benue, Nasarawa ne Taraba olw’obutakanya ku ttaka.

Mu kiseera kino, amagye gasindikiddwa mu bitundu byona okunyweza ebyokwerinda okutangira abantu abalala okutibwa.

Bukya 2018 atandiika, abantu abasuuka mu 100 batiddwa musaza lye Benue ne Taraba olw’obutakanya ku ttaka ate abasuuka mu 80,000 basenguse nga batya okutibwa.