Poliisi e Mityana ekutte omuvubuka lwa kulumba mulamu we n’amutemaatema ku kibegabega n’omugongo n’assaako n’omwana engalo.

Wilson Mugalula yakwatiddwa lwa kutematema Agnes Tumwiruke era mu kiseera kino ali mu mbeera mbi.

Kigambibwa nti Mugalula yateeberezza mulamu we okuyingiza omusajja omulala mu nju ya muganda we eyabadde taliiwo era y’emu ku nsonga lwaki yamulumbye ekiro ekyakeseza olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga n’amutemaatema.

Bino bibadde ku kyalo Jinja ekisangibwa mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana era abatuuze bavumiridde ekikolwa ekyo nti kyabadde kya butemu.

Abatuuze basobodde okuyigga Mugalula ne bamukuba okwagala okumutta wabula Poliisi yeyasobodde okumutaasa era mu kiseera kino ali mu ddwaliro lye Maanyi era ali ku mpingu.

Omwogezi wa Poliisi mum bitundu bya Wamala  Nobert Ocho akakasiza okwatibwa kwa Mugalula era agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.