Mu nsi yonna buli muntu ayagala nnyo okulya ku ssente ze kuba zituyanya okuzikola.

Engombo eno etukiridde bulungi nnyo ku Gilbert Balibaseka Bukenya eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga lino okuva 23, Mayi, 2003 okutuusa 23, Mayi, 2011 ate mu 1996 yaliko omubaka wa Palamenti owe Busiro County North.

Bukenya ku myaka 68 y’omu ku basajja abategeera obulungi okulya ssente ng’ali ne byana ebiwala ebito (ebijjujulu) era bangi ku badigize bagamba nti musajja ayagala ebintu.

Mu konsati ya Fik Fameica eya Kutama ku Sky Beach e Namasuba, Gilbert Bukenya yabaddeyo nnyo n’ekyana, nga kinyirira era obwadde kimuli ku lusegere ng’akisonseka obugambogambo ne kimweenya era obwadde beyiisa nga bali mukwano.