Omuyimbi Cinderella Sanyu amanyikiddwa nga Cindy Sanyu y’omu kwabo abayimbi abakyamudde abantu mu konsati ya Fik Fameica eya Kutama ku Sky Beach e Namasuba.

Cindy ng’ali wamu n’abazinyi be, bakubye abantu emiziki era bangi obwadde bawogana ennyo nti kutama maama Katonda yakuwa ebintu.

Abamu ku basajja obwedda bagamba nti eno konsati ya Kutana era Cindy otekeddwa okutama ennyo tulabe ku bintu.

Cindy n’abazinyi be, bakoze buli kabadi nga bali ku siteegi era abasajja babadde bagamba, otutta maama emisuwa gyeleze.