•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Omuyimbi Weasel Manizo asobodde okuyimba omulundi gwe ogusoose bukya mukwano gwe era muyimbi munne Mowzey Radio ava mu bulamu bw’ensi eno.
Weasel yabadde mu konsati ya Spice Diana ku Front Page e Namasuba ku lunnaku olwokutaano mu kutongoza oluyimba lwe Anti Kale era abantu basobodde okujjuza ekifo okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Weasel ku siteegi
Weasel ku siteegi

Weasel yasobodde okutegeera nti y’essaawa okuddamu okunoonya ssente era asobodde okwerabira ebya Radio nasalawo okutandiika okuyimba kuba ssente zetagisa.
Omuyimbi Weasel yasobodde okukaaba bwe yabadde ayimba ekitundu y’omugenzi Radio mu luyimba “Lwaki Onumya”.

Vidiyo y’oluyimba Lwaki Onumya olwa Weasel Manizo n’omugenzi Mowzey Radio


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •