•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kigobero ekisangibwa mu ggombolola y’e Kasanda mu disitulikiti y’e Mubende, omusajja ategerekeseeko erya Mutooro bwase muganzi we omulambo nagwezikira.
Kigambibwa Mutooro olw’amazze okutta muganzi, yasobodde okutegeza ku bazadde bamukyala we ng’ayita ku ssimu, abasobodde okutegeeza ku Poliisi n’abatuuze.

Omulambo mu nnyumba
Omulambo mu nnyumba

Ekyasinze okuggya abatuuze enviiri ku mutwe kwe kusanga nga ddala mu nju y’omusajja ono waziikiddwayo omulambo.
Mutooro ono ye tamanyiddwako mayitire wabula nga poliisi etandise omuyigo.
Embeera y’omukyala okutibwa, kyawaliriza abatuuze okukoona enju ya Mutooro era yonna yasigadde ku ttaka.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala Nobert Ochom agambye nti Poliisi atandiise okunoonya Mutooro akwatibwe.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •