Omuyimbi Spice Diana ayongedde okwewunyisa abantu engeri gyakwatamu ebintu bye mu bulamu bwa buligyo.
Spice y’omu ku bayimbi abato abavuddeyo mu kisaawe ky’okuyimba nga ne sabiti ewedde yabadde alina konsati ku Front Page e Namasuba mu kutongoza oluyimba lwe “Anti Kale” era abantu basobodde okujjuza ekifo okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Spice Diana
Spice Diana

Omuyimbi Spice mu Janwali wa 2018, yafuna diguli mu Industrial Fine Art ku yunivasite y’e Makerere wabula okusoma kwe bangi batandise okubusabusa.
Bwe yabadde ku NTV mu Pulogulamu Mwasuze Mutya ne Faridah Nakazibwe yabuziddwa obubonero bwe yafuna mu S6 kyoka yagambye nti yafuna 30 mu —— sijjukira bulungi ehh 36 kyoka abaana bangi nnyo bagwa kuba nze nali mugezi nnyo.