•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Poliisi mu disitulikiti y’e Rukiga ekutte abantu 6 ku by’okutta Ssemaka atemeza mu gy’obukulu 70.
Francis Ssebategyeza abadde omutuuze ku kyalo Kagarama mu gombolola y’e Kamwezi, yatiddwa era omulambo gwe gwazuliddwa abatuuze olunnaku olw’eggulo mu Mmande okumpi n’amaka ge.
Abakwatiddwa kuliko abaana 5 beyezaalira okuli Saul Ainebyona, Simon Muhumuza, Atuheirwe Sam ne Arinitwe Solomon ne mulirirwana we Joy Akamuhabwe.
Okusinzira ku Poliisi, abaana bekobaanye okutta kitaabwe, basobole okugabana ettaka.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agambye nti abaana bakwatiddwa era Poliisi etandiise okunoonyereza lwaki abaana basse ekitaabwe.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •