•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Akakiiko ka Palamenti akekeneenya abantu abalondeddwa Pulezidenti, enkya ya leero, lwe katandika eddimu okusunsulamu abalamuzi abalondebwa okuwereza mu kkooti ejjulirwamu ne kkooti enkulu.
Sabiti ewedde, ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yalonda abalamuzi 4 okwegata kwabo abali mu kkooti ejjulirwamu n’abalamuzi 10 mu kkooti enkulu.
Aba 4 abasindikibwa mu kkooti ejjulirwamu kuliko Christopher Madrama, Stephen Musota, Percy Tuhaise ne Ezekiel Muhanguzi.
Ate abasindikibwa mu kkooti enkulu kuliko Paul Gadenya, Joyce Kavuma, Olive Kazaarwe, Alex Ajiji, Tadeo Asiimwe, Emmanuel Baguma.
Abalala kuliko Musa Sekaana, Richard Wabwire ne Jane Abodo.
Wabula munnamateeka mu kibuga Kampala Male Mabirizi Kiwanuka yawanjagidde Palamenti okulemesa omulamuzi Musota ne Madrama kuba basukiridde okutwalira amateeka mu ngalo n’okwawulamu abaana n’ebyana mu kutambuza emirimu gyabwe.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •