•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Omu ku bayimbi abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba Eddy Kenzo ayuguumiza Serena Hotel mu Konsati y’omuyimbi Rema Namakula.

Kenzo yabadde ayimbirako mukyala we Rema mu Konsati “Banyabo” eyasombodde abantu bangi ddala okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo era yawerekeddwako abayimbi bangi nnyo.

Ku siteegi, Kenzo yayimbye ennyimba zonna ez’omukwano omuli Dagala, Nice and Lovely n’endala era yabadde n’abaana abato ku siteegi abakyamudde abadigize.

Kenzo yasobodde okulaga abantu nti ye ali mukwano ne Rema era olwamaze okuyimba yasiimye abantu bonna okuvaayo mu bungi okuwagira omumbejja we.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •