•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Bya Kyeyune Steven Mirembe

Poliisi y’e Mpigi ekutte omusawo w’ekinnansi ku by’okudda ku mwana gwazaala, namutiika olubuto n’okumuzaalamu.

Vincent Ssenoga amanyikiddwa ennyo nga Jjaja Kasooba myaka 69, omutuuze ku kyalo Kanaani mu goombolola y’e Buwama yakwatiddwa kuba muwala we myaka 20 abadde amukozesa okumala emyaka 7 era amuzaddemu abaana babiri (2).

Ssenoga mu kiseera kino ali poliisi y’e Buwama era akulira Poliisi eyo, Joseph Kakama agambye nti Ssenoga okwatibwa, batemezeddwako abatuuze, Poliisi nesitukiramu.

Ku nsonga eyo, ssentebbe w’ekyalo Robert Ssemuju agambye nti Ssenoga abadde abeera yekka mu nju ne muwala we, oluvanyuma lw’abakyala bonna 6 okunoba ne bawala be okufumbira mu bitundu by’eggwanga ebyanjawulo omuli Mubende, Kampala ne Kayunga.

Mu kiseera kino Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.

Kifaananyi kya Daily Monitor


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •