•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Bya Kyeyune Steven Mirembe

Poliisi ekutte ssemaka ku by’okutta mukyala we Nyirangundabiza Stella myaka 26 abadde omutuuze ku kyalo Kanyabukungu mu gombolola y’e Nyakabande mu Disitulikiti y’e Kisoro.

Omukyala asangiddwa ng’atiddwa okumpi n’amaka ge, kyoka nga mu kiro, yalabiddwako ng’ali ne bba Ngabire John Bosco myaka 21.

Omubiri gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Kisoro okwekebejjebwa abasawo.

Elly Maate
Elly Maate

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, agambye nti omusajja Ngabire John Bosco akwatiddwa abayambeko mu kunoonyereza kuba abadde alina obutakaanya n’omukyala okumala ebanga ddene nnyo.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •