Abatuuze mu katawuni k’e Ayago, mu Gomboolola y’e Lira era mu Disitulikiti eyo, bakyali mu ntiisa, oluvanyuma lwa bazigu abambalidde emigemera wala, okutta batuuze bannabwe babiri (2) mu kiro ekikeseza olwaleero.

Abatiddwa nga bakubiddwa amasasi kuliko Oliver Akello, 26, ne Joseph Otim, 28 nga banno babadde bakozi ku mobile money.

Abazigu balumbye, okunyaga ensimbi ku ssaawa nga 2 n’ekitundu ez’ekiro era amangu ddala nga basse Akello ne Otim basobodde okutwala ensawo eyabaddemu ensimbi, ezitanamanyika muwendo gwaazo.

Omu ku berabiddeko nagage Denis Odongo, agambye nti amangu ddala ng’ababbi bafunye ensawo y’ensimbi, basobodde okutisatiisa abatuuze nga bakuba amasasi mu bangu era basobodde okuduuka.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye North Kyoga, David Ongom Mudong agambye nti Poliisi etandikiddewo okunoonyereza okuzuula, abakoze ekikolwa ekyo, bonna bakwatibwe.