Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akoowodde abantu bonna okuvaayo okwegata okwaniriza enkyukakyuka mu ggwanga lino.

Bobi Wine agamba nti bannayuganda bangi, bazudde amazima era beetegefu okukyusa obuyinza okuva mu mikono gya Yoweri Kaguta Museveni kuba takyalina kyayinza kugamba bannansi.

Yoweri Kaguta Museveni
Yoweri Kaguta Museveni

Mungeri y’emu agambye nti abantu bonna ku ludda oluvuganya Gavumenti okwegata, kye kigenda okubayamba okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga wadde aba NRM bakola enkyukakyuka mu sseemateeka w’eggwanga lino okuggyawo ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga lino, okweyongeza emyaka 2 egy’ekisanja okuva 5 okudda ku 7.

Bobi Wine bino yabyogeredde Jinja East mu kunoonya akalulu ka Paul Mwiru omu kwabo abesimbyewo ku ky’omubaka w’ekitundu ekyo.