•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Kyaddaki eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Dr Kizza Besigye alangiridde nti omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, asobola okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino.

Ekyabadde Jinja East
Ekyabadde Jinja East

Besigye agamba nti Bobi Wine y’omu ku bavubuka abavuddeyo okwenyigira mu byobufuzi ekiraga nti mu Uganda waliwo abantu bangi nnyo abasobola okuleeta enkyukakyuka mu bukulembeze.

Bino okubyogera yabadde mu bitundu bye Jinja East mu kunonyeza munna FDC Paul Mwiru akalulu ku ky’omubaka wa Palamenti mu kitundu ekyo.

 


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •