Poliisi mu Kampala ekutte omubbi abadde ekulembeddemu okumenya amayumba mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Charles Bbaale yakwattiddwa kyoka amangu ddala ng’akiriza eby’okubba, anokoddeyo banne.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, banokoddeyo era ne bakwattibwa kuliko Godfrey Mukasa okuva Saalama, John Kankaka, Martin Mwesigwa ne Peter Kizza Ssemugenyi nga bonna batuuze okuva e Kitebi.

Mungeri y’emu agambye nti abakwattiddwa basobodde okwekebejja ennyumba zabwe era musangiddwamu ebintu ebyenjawulo ebyabbibwa omuli ttiivi sako n’ebyo ebyeyambisibwa okumenya amanyumba.

Abakwatte bali ku Poliisi y’e Katwe era baguddwako emisango egyenjawulo era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.