Omuvubuka Musa Galiwango abadde eyigibwa Poliisi ku by’okutulugunya abatuuze mu bitundu bye Masaka, akubiddwa amasasi era mu kiseera kino awereddwa ekitanda mu ddwaliro ekkulu e Mbarara.

Galiwango sabiti ewedde yasimatuka okuttibwa naduuka kyoka munne Muhammed Kiddawalime abatuuze bamutta nga bayambibwako Poliisi, bwe balumba omutuuze omusawo Nankyambadde Resty ku kyalo Mukoko mu goombolola y’e Bukulura mu disistulikiti y’e Kalungu okubba ebintu ebyenjawulo omuli ssente.

Frank Baine
Frank Baine

Okusinziira ku mwogezi w’amakomera, Frank Baine, Galiwango ali mu ngalo zaabwe era essaawa yonna bagenda kumutwala mu kyuma kya X-Ray okumwekebejja amasasi agamukubiddwa.

Lameck Kigozi
Lameck Kigozi

Ate omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka (Greater Masaka) Lameck Kigozi, agambye nti Galiwango asangiddwa ku kyalo Kigalama mu Disitulikiti y’e Ntungamo mu nnyumba y’omukadde ekiro ku ssaawa 8:45.

Lameck agamba nti Galiwango amangu ddala ng’akitegedde nti Poliisi emuzinzeeko, ayagadde okuduuka era abasirikale bamukubiddewo amasasi agamulumiza napondooka era nakwatibwa.

Mungeri y’emu agambye nti mu ddwaliro e Mbarara, ateekeddwako ebyokwerinda okutuusa ng’abasawo bamusiibudde akomezebwewo e Masaka avunanibwe emisango gye omuli okutta abantu, okulumya abantu, obutujju, okutoloka mu kkooti n’okubbisa eryanyi era asaangiddwa ne mmundu ekika kya basitoola.

Kinnajjukirwa nga 1, March, 2018, Musa Galiwango ne munne kati omugenzi Muhammed Kiddawalime batoloka mu kkooti e Masaka gye bali batwaliddwa ku misango egyenjawulo omuli okutta abantu mu kitundu ekyo nga beyambisa ebijjambiya n’emiggo n’ebintu ebirala.