Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okulaga nti y’omu ku bakulembeze mu Uganda abalina omutima ogwagala okuyamba abantu.

Katikkiro Mayiga enkya ya leero asobodde okuyamba omukyala Mary Kiconco abadde afunye akabenje era asaangiddwa ng’agudde mu kkubo wakati ku luggudo lwa Sir Apollo Kaggwa Road mu Kampala.

Katikkiro Mayiga mu ddwaliro e Kawempe
Katikkiro Mayiga mu ddwaliro e Kawempe

Katikkiro abadde agenda mu bitundu bye Kyaggwe mu Kampeyini ya “Emmwanyi Terimba”, asobodde okuyimiriza emmotoka ze era omukyala Kiconco ateekeddwa mu mmotoka ye okumutwala mu ddwaliro lye Kawempe okufuna obujanjabi era oluvanyuma yeyongeddeyo E Kyaggwe.