•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Eyaliko mukyala w’omuyimbi Diamond Platnumz, Zari Hassan alemeddeko nti ye tayinza kudda mu bufumbo bwa Platnumz kuba mu kiseera kino musanyufu nnyo.

Zari bw’abadde ku NTV mu ggwanga erya Kenya agambye nti wadde omugenzi Ivan Semwanga yalina omukwano kyoka yali asukkiridde okumukuba nga tayinza kuwangalira mu bufumbo bwe kyoka Platnumz naye abadde talina mpisa, tamuwa kitiibwa amuyisaamu amaaso era y’emu ku nsonga lwaki yavaayo.

Zari n'abaana be
Zari n’abaana be

Wabula agamba nti mu kiseera kino alina omusajja mu ggwanga erya Tanzania asobodde okumuyamba okulambika abaana empisa enungi n’okusingira abaana b’omugenzi Semwanga abalenzi.

Zari agamba nti abaana abalenzi bakuze nga betaaga omusajja ayinza okubalambika era bakojja babwe bakoze nnyo okubatereeza.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •