•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Kyaddaki mwana muwala Zari Hassan abikudde ebyama lwaki yayawukana n’omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania wadde balina abaana babiri (2).

Zari agamba nti wadde Platnumz musajja alina omukwano, yali talina mpisa, tamuwa kitiibwa amuyisaamu amaaso ng’abaana bonna webali ekintu ekyali kityobola ekitiibwa kye.

Diamond Platnumz
Diamond Platnumz

Mungeri y’emu agambye nti ye mukyala alina ebintu bye era yali tayinza kuwangalira mu bufumbo ng’omusajja tamuwa kitiibwa.

Zari ne Platnumz
Zari ne Platnumz

Bw’abadde ku NTV mu ggwanga erya Kenya, Zari agambye nti tayinza kwejjusa kuba mu kiseera kino musanyufu nnyo.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •