•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza n’okulaga eggwanga abantu abenyigidde mu kitta bantu ekyongedde okulanda mu ggwanga lino.

Mayiga agamba nti abantu mu ggwanga n’okusingira ddala mu Buganda bakaabye amaziga agamala era ebitongole ebikuuma ddembe, biteekeddwa okuyimiriza embeera eyo.

Ekyabadde mu lukiiko
Ekyabadde mu lukiiko

“Nina enyiike nti ekizibu kino kyeyongedde bweyongezi, ate abakola bino amakanda bagasimbye mu Buganda. Tusaba ab’ebyokwerinda bakole ekisoboka okumalawo ettemu lino kuba kirabika ekigendererwa ky’abantu ssi ssente kubanga batta Omuntu awatali nsonga yonna. Nsaba Gavumenti ekole ekisoboka embeera edde mu ddembe, abantu tebakyebaka ku tulo” Katikkiro Mayiga ku nsonga y’ettemu mu ggwanga lino.

Ekyabadde mu lukiiko
Ekyabadde mu lukiiko

Peter Mayiga bwe yabadde mu lukiiko lwa Buganda olunnaku olw’eggulo ku Mmande ku Bulange e Mmengo, okutegeza obuganda ebitukiddwako n’ebikyalemye yajjukiza Gavumenti nti etekeddwa okukuma abantu n’ebintu byabwe, basobole okutambuza emirimu gyabwe nga tewali mbeera eyinza kubalemesa.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •