•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Ssemaka atemera mu gy’obukulu 40 akwattiddwa ku by’okudda ku mwana gwazaala namuzalamu omwana.

Kasujja Godfrey aswalidde ku Poliisi y’e Masaka, omwana gwazaala atemera mu gy’obukulu 17, bwamulumiriza okumukozesa, okuva ng’akyali mwana muto, namuzalamu  n’omwana.

Kasujja okwattibwa, kidiridde omwana Nayiga Patricia atemera mu gy’obukulu 15, eyabula omwaka oguwedde ogwa 2017 okuva mu maka ga jjajja we, okulabwa omu ku batuuze n’ayingira akazigo Ssemaka Kasujja k’eyali yapaangisa nga mwasinzirira okubakozesa.

Omwana ssemaka Kasujja gwe yazaala mu muwala we, mu kiseera kino alina emyezi 4.

Lameck Kigozi
Lameck Kigozi

Omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka (Greater Masaka) Lameck Kigozi agambye nti wadde omusajja akwattiddwa Poliisi erina okunoonyereza lwaki abaana babadde balemeddwa okutegeza ku Poliisi ku nsonga eyo.

Ku nsonga y’emu, Lameck agamba nti omwana yasalawo okuleeta mukwano gwe Nayiga Patricia mu kazigo kuba kitaawe yali asukkiridde okwagala omukwano buli lunnaku.

Taata Kasujja abadde akozesa abaana bombi era aguddwako emisango egyenjawulo omuli okabasanya abawala abato, okuwamba omuntu kuba omuwala Nayiga abadde eyigibwa, okwekakatika ku mwana gwazaala n’emisango emirala.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •