•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Ab’oluganda bafunye obutakkaanya nga kivudde ku mwenge omu n’attirawo munne.

Charles Chombe omutuuze we Kiruli mu town council y’e Kigumba mu disitulikiti y’e Kiryandongo, atemera mu gy’obukulu 30 yattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine Julius Hakiza, Alfred Kasamba akyalira ku nsiko, yakutte omuggo nakuba Chombe ku mutwe n’amutta ng’amulumiriza okunywa ku mwenge gwe ogwa kaveera (waragi w’obuveera).

Hakiza era agambye nti kyewunyisa Kasamba okutta muganda we olwa waragi kyoka Poliisi etandiise okunoonyereza akwatibwe era avunanibwe.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •