•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Poliisi y’e Lugazi ekutte omusawo abadde yegumbulidde okugyamu abakyala embuto mu kitundu kyabwe.
Kato Fredrick atemera mu gy’obukulu 50, omutuuze we Kyamabaale mu Town Council y’e Buikwe era mu disitulikiti eyo, yakwattiddwa ku by’okugyamu omuwala Nankya Lilian olubuto ekyaviriddeko nnabaana ye okuvunda era negibwamu.
Omuwala Lilian asoma busomesa e Ggaba Primary Teachers College era kigambibwa nti olubuto lwabadde lwa musomesa we.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssesibwa Hellen Butoto, omusawo aguddwako emisango egyenjawulo omuli okugyamu abakyala embuto n’okutambuza emirimu nga talina layisinsi okuva mu minisitule y’ebyobulamu.
Butoto agamba nti omusawo Fredrick abadde yeyambisa amaka ge, okutambuza emirimu gy’okugyamu abakyala embuto.

Ekifaananyi kya Daily Monitor


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •