•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Ekitongole kya Poliisi kiguddemu ekiyongobero enkya ya leero, omusirikale wabwe bw’atomeddwa emmotoka ebadde ku misinde egyayiriyiri nafirawo.
Francis Kato abadde adduumira Poliisi y’e Kyebando yattiddwa.
Okusinzira Michael Kasigyire adduumira Poliisi ku Kira Road, Kato atomeddwa emmotoka bw’abadde agezaako okusala ekkubo okudda ku mirimu gye ku Poliisi y’e Kyebando.
Omulambo gutwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Mulago.
Kasigyire agamba nti Poliisi etandikiddewo okunoonyereza okuzuula emmotoka etomeddwa omusirikale wabwe.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •