•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Poliisi mu Kampala ekutte abantu babiri (2) ku mukyala eyawambibwa n’attibwa mu bukambwe ng’atugiddwa era omulambo gwe, negusulibwa ebbali w’ekkubo mu zzooni y’e Kabaawo e Mutundwe mu Divisoni y’e Rubaga nga 26, March, 2018.
Charity Kyohirwe eyali atemera mu gy’obukulu 32 omutuuze we Masajja mu ggombolola y’e Makindye yawambibwa era abakikola ne basaba obukadde 5, ab’enganda ne basindika obukadde 3 ku ssiimu kyoka omuntu wabwe nattibwa.
Abakwattiddwa kuliko Khasifa Nyakayisiki, Metuloni (matron) ku ssomero erimu mu bitundu bye Kyengera ne Richard Ndawula, omutuuze we Kireka.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Kampala n’emirwano, Luke Owoyesigyire, abakwatiddwa, Poliisi yasobodde okulondoola essiimu eyafuna ssente okuva mu ab’oluganda lw’omugenzi nga ya Metuloni Khasifa era bwe yakwatiddwa nalumiriza Ndawula okulemberamu mu Ddiru.
Mu kiseera kino abakwate bali ku Poliisi y’e Kireka nga Poliisi bw’egenda mu maaso n’okukola okunoonyereza.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •