•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Abatuuze ku mwaalo gwe Kibuye mu disitulikiti y’e Nakasongola, bawanjagidde Gavumenti okubasembereza amazzi mu kitundu kyabwe kuba y’engeri yokka eyinza okuyamba, okutangira Ggoonya okubalya.
Abatuuze okutabuka, kidiridde Ggoonya okulya omwana Ashraf Okwang atemera mu myaka 14 abadde omuyizi ku Unique Primary School mu kibiina ky’okutaano, akawungeezi k’olunnaku olwokubiri ku Lake Kyoga, bwe yabadde ageenze okukima amazzi.
Okusinzira ku taata w’omugenzi, Siraje Nteeba, mu kitundu kyabwe balina nayikondo emu ate yakusasulira, ekiwaliriza abatuuze okukima amazzi ku nnyanja.
Mungeri y’emu agambye nti mutabani we, yaliriddwa emikono, amaggulu, ebyenda, Omutima n’ebitundu by’ekyama.

Ate bbo abatuuze nga bakulembeddwamu Florence Nyakaisiki bagamba nti Ggoonya okweyongera ku nnyanja bangi balemeddwa okutambuza emirimu gyabwe ekiviriddeko obwavu okweyongera.
Mungeri y’emu bawanjagidde ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku nsolo z’omunsiko ekya Uganda Wildlife Authority okuyamba okukwata Ggoonya okuva ku nnyanja kuba zigenda okweyongera okulya abantu ku mwaalo.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •