•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Akulembera akabinja ka bodaboda 2010, Abdullah Kitatta enkya ya leero, bamukomyawo mu kkooti y’amaggye e Makindye okuddamu okwekenenya obujjulizi obuleteddwa ku misango egyamugulwako.

Omulundi ogwasembayo omweezi oguwedde, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj Raphael Mugisha lwaleeta omujjulizi Private Richard Kasajja, omusirikale mu kitongole ekikesi ekya CMI, eyavirako Kitatta okuyunguka amaziga mu kkooti.

Kasajja  yategeza kkooti nti Kitatta bamukwatira mu kabuyonjo ku Vine Hotel e Wakaliga mu ggombolola y’e Rubaga, nga 20, Janwali 2018.

Private Kasajja era agamba nti Kitatta bwe yali akwatibwa, mu kisenge mwe yali asula, mwasangibwamu emmundu ekika kya  pisito eyali ajjude amasasi, emmundu endala ekika SMG ate mu mmotoka ye, eyali epaakinze ku Hotel, mwasangibwamu pisito n’amasasi 15 n’ebiziti ebirala omuli yunifoomu z’amaggye 2, enkofira 7 ebyasangibwa mu offiisi ya bodaboda 2010 e Wakaliga n’ebizibiti ebirala.

Kkooti era yagaana okuyimbula Kitatta kuba singa kikolebwa, ayinza okuddaka mu ggwanga kuba emisango egimuvunanibwa gya naggomola era bwe gimusinga, ayinza okusibwa amayisa oba okutataaganya okunoonyereza.

Kitatta bagenda kumugya ku Limanda mu kkomera ly’amaggye wali e Makindye ate banne 12 bagenda kuva Luzira.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •