Kyaddaki Ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola, abikudde ekyama ku by’okutibwa kwa Ibrahim Abiriga ne muto we Saidi Congo, abakubiddwa amasasi agabatiddewo ku lunnaku olwokutaano e Kawanda mu disitulikiti y’e Wakiso ne baziikibwa olunnaku olw’eggulo ku Mmande.

Ochola agambye nti bbo nga Poliisi ensonga bagikwasiza maannyi, era asuubiza eggwanga nti abantu bonna abeenyigidde mu kutta Abiriga ne munne, bagenda kukwatibwa, amateeka okubalamula.

Ibrahim Abiriga
Ibrahim Abiriga

Mungeri y’emu, agumiza bannayuganda ku byokwerinda mu ggwanga lino nti bikyali gulugulu n’okulabula abakulembeze mu ggwanga okomya okutisatisa abantu nti ebyokwerinda byongedde okunafuwa.

Saidi Congo
Saidi Congo

Ebyo okubyogera, abakwasaganya ebyokwerinda mu ggwanga lino, basinzidde ku Serena Hotel mu Kampala mu kiro ekikeseza olwaleero ku Lwokubiri ku mikutu egyenjawulo okulambika eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda.

Abakulu okuli Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo, akulira ekitongole ky’amakkomera Johnson Byabashaija, omuduumizi w’amaggye Gen. David Muhoozi, Minisita w’Obutebenkevu Gen. Elly Tumwine, Minisita w’ebyokwerinda Adolf Mwesige, Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo ne Martin Okoth Ochola aduumira Poliisi mu ggwanga, bakakasiza nti ebyokwerinda mu Uganda bikyali bitebenkevu ddala.