•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Amaggye gavuddeyo ku bigambibwa nti eyali adduumira Poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura yakwatiddwa akawungeenzi k’olunnaku olw’eggulo ku misango egyenjawulo.

Amawulire okuva olunnaku olw’eggulo gayitingana n’okusingira ddala ku mukutu ogwa Face Book nti Gen Kayihura yakwattiddwa era mbu akumibwa amaggye ga Special Forces Command (SFC) ku Senior Officers’ Mess e Kololo.

Gen Kale Kayihura
Gen Kale Kayihura

Wabula Captain Denis Omala okuva mu kitongole kya SFC agambye nti Gen Kayihura tanakwatibwa era abantu balina okomya okusasaanya amawulire amakyamu.

Mungeri y’emu agambye nti batandiise okunoonyereza abantu bonna abakulembeddemu okusasaanya amawulire amakyamu bakwatibwe, batwalibwe mu kkooti kuba y’engeri yokka eyinza okuyamba okutaasa eggwanga ku bantu abalina ebigendererwa ebyokutabula eggwanga nga beyambisa emikutu gya yintaneti.

Wabula enkya ya leero, Gen Kayihura awakanyiza eby’okukwatibwa era agambye nti ali mu maka ge mu Disitulikiti y’e Lyantonde atambuza mirimu gye. Agambye nti eby’okukwatibwe kwe, naye yewunyiza nnyo okusasaanira emikutu gya yintaneti.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •