Munnakatemba Alex Lumu abadde amanyikiddwa nga King Kong afudde enkya ya leero.

Okusinzira ku munnamawulire wa 100.2 Galaxy FM, Mariat Nasasira, mwanyina wa King Kong akakasiza nti muganda we afudde nga kivudde ku musujja, era afiridde Kanyanya

Abadde manejja wa King Kong, Eve Mbabazi asobodde okweyambisa omutimbagano okutegeza nti omuntu we afudde. Mbabazi agambye nti King Kong abadde muntu wanjawulo nnyo era okuffa kwe kugenda kujjukirwa nnyo, “Kings Kong Mc it was a great opportunity to have met and worked with you. You became a friend and a brother to me and my family.
Our condolences go to your family relatives and friends. Uganda will surely miss you”.

Okumanya enfa ya King Kongo etiisa, mu 2015 yasimattuka akabenje ddekabusa era bangi ku bannayuganda bali bamanyi agenda kufa kyoka yasobola okuwona, ekyewunyisa omusujja guviriddeko okufa kwe.

Kongo bwe yali akyaziddwa ku 100.2 Galaxy FM, yayogera bwati ku kabenje, “Mmotoka yalinamu obuzibu ng’amataala tegalaba bulungi. Nali ngenda mu kivvulu ng’emmotoka eri ku misinde kyokka bwe nagiwugula nga nneewala okutomera ate ne nnyambalagana n’emmotoka ennene n’enkuba. Namala mwezi nga simanyi biri ku nsi. Naddamu okutegeera nga December 10, 2015 ate ng’akabenje kaali ka November wa 2015. Eriiso eryasinga okukosebwa libadde terisobola kulaba mu kitangaala naye kati literedde bulungi”.

Wafiridde, abadde alina abaana basatu (3) era mbu abadde yayawukana ne mukwala we mbu nga talina mpisa.

Wafiridde, abadde alina abaana basatu (3) era mbu abadde yayawukana ne mukwala we mbu nga talina mpisa. yafiiridde mu kiliniki Kisansa, Kanyanya gy’abadde ku kitanda okuva ku lunnaku Olwokutaano.

Mu bulamu bwe, abadde muzinyi era asobodde okulabikirako mu vidiyo ezenjawulo okuli Maria Roza olwa Eddy Kenzo, Tusansanya olwa Big Eye n’endala.

Agenda kuzikibwa olunnaku olw’enkya e Ggomba ku ssaawa 10 ezakawungeenzi.

King Kong yaliko omukozi ku laadiyo 100.2 Galaxy Fm Zzina, mu 2016, abadde munnakatemba mugundivu era abadde muzinnyi nnyo mu vidiyo ezenjawulo.

Ezimu ku vidiyo ng’azina