Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni olunnaku olwaleero ku ssaawa 8 ez’emisana, agenda kwogerera mu Palamenti, okulambulula ku nsonga y’ebyokwerinda n’ettemu eriri mu ggwanga ekiseera kino.

Pulezidenti Museveni agenda kunyonyola ebigenda okolebwa Gavumenti okutebenkeza ebyokwerinda mu ggwanga omuli okutangira ekitta bantu, abantu okuwambibwa, abamu ne battibwa, okutematema abantu ebijjambiya n’okweyambisa emmundu okutta abantu era Ibrahim Abiriga eyali omubaka w’e Arua mu Palamenti ne muto we era yali omukuumi we Saidi Congo bebasembyayo okuttibwa n’emmundu.

Omugenzi Ibrahim Abiriga
Omugenzi Ibrahim Abiriga

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga yajjukiza ababaka bonna okubaawo olunnaku olwaleero nga Pulezidenti alambika ku nsonga y’ebyokwerinda.