Owa bodaboda Musa Abbas asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku by’okuwamba n’okutta omukyala Suzan Magara.

Abbas yagattiddwa ku banne 9 era abali ku limanda e Luzira ku misango gy’okutta Magara.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Abbas ne banne abasindikiddwa ku Limanda n’abalala abakyanonyezebwa, benyigira mu kuwamba Magara nga 7, Febwali, 2018 kyoka nattibwa mu bukambwe nga wakayita ennaku 20 era omulambo gwe ne gusulibwa e Kigo ku luguudo lwa Ntebbe Express High Way nga 27, Febwali, 2018.

Omulamuzi wa Buganda Road, Robert Mukanza, takiriza Abbas kwewozaako kuba emisango egimuguddwako gya naggomola, egiteekeddwa okuwulirwa kkooti enkulu yokka.

Abbas agattiddwa ku banne 9 Imam ku muzikiti gwa Usafi Mahad Kasalita, Yusuf Lubega,32, Hussein Wasswa,22, Muzamiru Ssali,27, Hajara Nakandi,35, Abubaker Kyewolwa, 30, Hassan Kato Miiro, 22 ne Ismail Bukenya, abateekeddwa okudda mu kkooti nga 28, June, 2018.