Gavumenti ya Uganda eweze mbagirawo walagi atundibwa mu buveera mu ggwanga lyona.

Ekyama kino kibikuddwa Minisita w’eby’obusuubuzi, amakolero n’obwegassi, Amelia Kyambadde era awadde ensonga eziwerako lwaki walagi atundibwa mu buveera awereddwa mu ggwanga lino.

Minisita Kyambadde bwe yabadde e Luzira ku kkolero lya Uganda Breweries Ltd (Bell) ng’atongoza layini empya eya Uganda walagi ewemmense obuwumbi 13 okugisimba okumalirizibwa yagambye nti walagi w’akaveera okutundibwa ku bbeeyi esoboka eri buli omu y’emu ku nsonga lwaki abaana bongedde okwonooneka.

Minisita Amelia Kyambadde
Minisita Amelia Kyambadde

Minisita Kyambadde ku nsonga eyo yagambye nti “Gavumenti yasisinkana dda bannamakolero mu ggwanga lyona abakola walagi w’obuveera ne babategeeza ensonga eno era baweereddwa ebbanga okutuusa mu mwezi gw’omwenda omwaka guno ogwa 2018 ng’akaveera tekakyakkirizibwa ku katale olw’okutaasa Bannayuganda naddala mu baana b’amasomero ababadde bakukuta n’obuveera buno nga babuyingiza mu masomero okunywa n’okutunda”,.

Mungeri y’emu Minisita Kyambadde agamba nti okunywa ennyo omwenge kiviriddeko abantu abamu okulemwa okwekolera, abalala okulwala ebirwadde n’amaka okutabanguka.