Omuyimbi Gravity Omutujju ayugumizza kirabu Amnesia mu kiro ekikeseza olwaleero era abadigize bonna bavuddeyo bakiriza nti omwana alina talenti.

Omutujju asobodde okuyimba ennyimba zonna omuli Wulira Endongo, Musomesa, bigambo, Broken English, Olimba, Emyaaka, Ayi Ayi, Luswata, Tolingiliza n’endala era bambi yasobodde okuwa abantu essanyu.

Gravity Omutujju mu kirabu Amnesia yawerekeddwako abayimbi abalala omuli Chozen Blood n’abazinyi okuli Eddy Wizzy kyoka byana biwala byamuyiikidde mu ssanyu nga byagala okuzina bombi omunyigo.