Omuwala myaka 23 omuyizi ku yunivaasite ya Uganda Christian University (UCU) asingisiddwa emisango 10 egy’okusasaanya obuseegu n’okukoseza kompyuta mu ngeri emenya amateeka.

Lillian Rukundo olunnaku olw’eggulo ku Mmande yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Buganda Road mu kibuga Kampala era yakiriza emisango gyona.

Okusinzira ku ludda oluwaabi mu 2017, Rukundo ng’asinzira mu hositeero mu disitulikiti y’e Mukono yateeka vidiyo ku Face Book ye nga yeekuba akasabuuni n’ekigendererwa eky’okusabbalaza abasajja.

Rukundo aguddwako emisango 10 egy’okusasaanya obuseegu era akirizza n’emisango gy’okuteeka ebifaananyi ng’ali bukunya okuva ku mabeere okutuuka ku bigere ku Face Book.

Omulamuzi wa kkooti Mary Babirye yasindise Rukundo ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 13, July, 2018, lwanadda mu kkooti, omulamuzi okumusalira ekibonerezo.