Poliisi mu kibuga kye Nyendo e Masaka ekutte omusajja abadde yegumbulidde okutigomya abatuuze.

Ssebowa Simon yakwattiddwa, abadde amanyikiddwa nga “Big Dog”, era okwattibwa kwe, kuwadde abatuuze essannyu n’okusiima ekitongole ekya Poliisi.

Amyuka adduumira Poliisi mu Greater Masaka ate nga ye mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Lameck Kigozi, agambye nti Big Dog abadde asukkiridde obubbi era asangiddwa nga yekukumye ku kyalo Kasu mu disitulikiti y’e Lwengo.

Lameck era agambye nti Big Dog aguddwako emisango egyenjawulo omuli okubba pikipiki, okusangibwa ne biragalaragala, okusangibwa n’ebintu ebiteberezebwa okubibwa era anoonyerezebwako ku misango 4 omuli okulumya abasirikale ba Poliisi, okukwata abantu obubadiya ne batwala ebintu byabwe, okulumya abatuuze n’okubba.

Mungeri y’emu Lameck akowodde abantu bonna okuleeta obujjulizi obugenda okulumiriza Big Dog mu kkooti.