Kyaddaki sipiika wa paalamenti alangiridde nti sabiti ejja ku Lwokusatu Paalamenti yakuddamu okutuula, okuddamu okwekeneenya n’okubaganya ebirowoozo ku misolo egyateekeddwa ku social media omuli Face Book, WhatsApp, Twitter n’emikulu emirala ogwa shs 200 buli lunnaku n’omusolo ogwa shs 1 ku buli 100 ku Mobile Money eri abantu abasindika n’okugyayo ssente.

Sipiika Rebecca Kadaga okulangirira ku Lwokusatu, kidiridde okufuna ekiwandiiko okuva ku bayizi ku  yunivaasite y’e Makerere ne ba Agent ba Mobile Money, nga kiteekeddwamu okwemulugunya kwabwe omuli okunyigirizibwa kw’abayiz abafuna ssente okuva mu bazadde babwe ku massimu gabwe ate ba Agent bagamba nti bakasitoma bayongedde okukendera.

Kadaga agumizza abantu bonna nti sabiti ejja, bakwekenenya emisolo egyo, oluvanyuma bategeeze bannayuganda ekiddako.

Bbo abayizi, abakulembeddemu okutwala ekiwandiiko eri sipiika kadaga, bagamba nti emisolo gyombi, gyongedde okuzibuwaza obulamu bwabwe omuli okubalemesa okunoonyereza n’okuwuliziganya ng’abayizi olw’omusolo ogwateekeddwa ku social media wamu n’okulemesa abazadde okubasindikira ssente omuli School Fees za yunivaasite nga batya omusolo ogwateekeddwa ku Mobile Money.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •