Abasajja 6 basindikibwa ku Limanda mu kkomera e Luzira sabiti ewedde ku by’okutta abakyala mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, enkya ya leero, bakomezebwawo mu kkooti, okuwuliriza okunoonyereza wekutuuse ku misango egibavunanibwa.

Banno okuli Kamada Mugabe myaka (22), Olo John Bosco myaka 26, Ali Ddumba, Frank Ssendi myaka 24, Brian Kaaya ne Herbert Lukwago, basimbibwa mu maaso g’omulamuzi Roseline Nsenge ow’eddala erisooka ku LDC mu Kampala era bagulwako, emisango egyenjawulo omuli egy’okutta n’okuwaamba abantu.

Abamu ku bakyala abattibwa, kuliko Halima Rehema, eyawambibwa nga 24, Mayi, 2018 okuva e Masajja mu disitulikiti y’e Wakiso nattibwa era omulambo gwe ne gusulibwa mu nsiko.

Mungeri y’emu benyigira mu kutta omukyala Rose Nakisekka, eyasangiddwa ng’attiddwa nga 11, Mayi, 2018, Kirinyabigo, Mutundwe mu disitulikiti y’e Kampala.

Oludda oluwaabi lusubirwa enkya ya leero, okutegeeza omulamuzi webatuuse mu kunoonyereza kwabwe kuba bonna 6 bali ku misango gya naggomola.