•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Bebe Cool ne Sheila Gashumba ku siteegi
Bebe Cool ne Sheila Gashumba ku siteegi

Omuyimbi Bebe Cool ayongedde okulaga nti y’omu ku bayimbi abasinga okukyamula abantu ku siteegi kuba wadde musajja akuliridde, akyakola ebisanyusa abadigize mu ggwanga lyona.

Bebe Cool yazaalibwa nga 1, September, 1977 era mu kiseera kino alina emyaka 40, musajja alina omukyala Zuena Kirema n’abaana abamanyiddwa okuli Allan Hendrick Ssali, Beata Ssali, Caysan Ssali, Alpha Thierry Ssali ne Deen Ozil Ssali.

Abamu ku bantu bagamba nti Bebe Cool ku myaka gye, alina ebintu by’alina okwesonyiwa ku siteegi omuli okunyiga sikwizi abawala abato n’oluyimba lwe “Katono”.

Bebe Cool ne Sheila Gashumba ku siteegi
Bebe Cool ne Sheila Gashumba ku siteegi

Bebe Cool yabadde mu kivvulu ekimu era ku siteegi yabaddeko n’abawala abenjawulo omuli Sheila Gashumba era yasobodde okuzina nabbo swikizi n’oluyimba lwe Katono.

Ekirungi kyawadde abadigize abazze mu kivvulu essannyu kyoka amaloboozi gawuliddwa ng’abantu bagamba “Bebe Sheila mwana akyali muto mwesonyiwe kuba yenkana n’omwana wo”.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •