Mu nsi yonna abantu balina engeri ezenjawulo ze beyambisa okumanyika okufuna obwa sereebu era abantu bangi nnyo bakikolerera.

Abamu ku basinze okufuna obwa sereebu mu ngeri enungi mulimu abayimbi, bannakatemba, abasambi b’omupiira, abaduusi, abazannyi ba firimu n’abalala.

Wabula bannayuganda bangi nnyo bateteenkanya okufuna obugaanzi omuli n’omukyala Nalongo Sheila Don Zella eyaliko mukyala w’omuyimbi StarBoss Big Eye.

Nalongo Don Zella
Nalongo Don Zella

Don Zella ennaku zinno asukkiridde okweyambisa omubiri gwe okufuna abagoberezi ng’ayita mu kulaga ebitundu ku mubiri gwe.

Wadde mu Uganda omuntu yenna okusasaanya obuseegu kimenya amateeka Don Zella tanakwatibwa kyoka bangi ku bannayuganda bagamba nti asukkiridde okuwebuula ekitiibwa ky’abakyala.

Nalongo Don Zella ali bweru wa ggwanga kyoka ebifaananyi bye bisabbalaza abasajja n’abavubuka bangi ddala era kimuyambyeko okweyongera okufuna abagoberezi n’okusingira ddala ku Face Book ne Instagram.