Fred Ssentamu Nyanzi amanyikiddwa nga Chairman Nyanzi ng’ali ne banne okuli Lule David ne Katongole Julius basindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 24, July, 2018.

Chairman Nyanzi mukulu w’omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne banne bakwatibwa sabiti ewedde ku Lwokusatu nga 11, July, 2018 mu kibuga Kampala mu kwekalakaasa nga bawakanya omusolo ogwa shs 200 buli lunnaku ogwateekeddwa ku Social Media okuli Face Book, Twitter, WhatsApp, n’emikutu emirala n’ogwa shs 1 ku buli 100 eri abantu bonna abagala okusindika n’okugyayo ssente ku Mobile Money.

Bobi Wine ne banne mu kwekalakaasa
Bobi Wine ne banne mu kwekalakaasa

Omulamuzi Ester Nakirya abaguddeko omusango gw’okukuba olukungana mu ngeri emenya amateeka kyoka omusango bagwegaanye era ne basaba omulamuzi okukiriza bayimbulwe kuba balina amaka era balina obuvunanyizibwa ate ssemateeka abawa eddembe okweyimirirwa.

Wabula wadde munnamateeka wabwe Richard Lumu awanjagidde omulamuzi abantu be okweyimirirwa, oludda oluwaabi luwakanyizza okusaba kwabwe bwe lutegezeza ng’omuvunaanwa Fred Ssentamu Nyanzi omu ku bamweyimiridde, talina bulungi bisanyizo kuba Nyanzi amusinga mu myaka ng’ayinza okulemererwa okutukiriza obuvunanyizibwa okulagira Nyanzi okudda mu kkooti.

Omulamuzi Ester Nakirya abalagidde okudda mu kkooti 24, July, 2018 okusobola okuddamu okuwulira okusaba kwabwe.