Omuyimbi Maro avuddeyo okusomesa abantu akabi, akali mugayaala okutundula envunza mu ggwanga lyona n’okubagyamu endowoozo egamba nti envunza zirima ggwanga limu lyoka.

Maro eyakuyimbira ennyimba ezenjawulo omuli Genda ewamwe, Kombayine, Mubi Mubi, Kyokoba n’endala, agamba nti kampeyini ye, agenda kutambula eggwanga lyona okusomesa abantu okwetangira envuza omuli n’okweyambisa ennyimba ze omuli “Tundula” olupya olwafulumiziddwa, okutegeeza abantu ensonga eyo.

Mungeri y’emu agambye nti mu kampeyini eno, yawereddwa obwa Ambasada w’okulwanyisa envuza “JIGGERS AMBASADOR” kuba kizuliddwa nti envuza okutigomya abantu kivudde ku bintu ebyenjawulo omuli obukyafu n’obugayaavu.

Mu Uganda, envuza zitigomeza nnyo abatuuze mu bitundu bye Jinja era Maro okuvaayo, balina esuubi nti bagenda kuzirwanyisa n’amaanyi.