JJAJJA w’obusiraamu mu ggwanga lino Omulangira Al Haaji Dr.Kassim Nakibinge awanjagidde ababaka ba Palamenti okugyawo omusolo gwona ogwatekeddwa ku Mobile Money ogwa shs 1 ku buli 100 eri abantu bonna abagala okusindika n’okugyayo ssente ku ssimu zabwe.

Jjajja Nakibinje agamba nti, obutakaanya mu bakulembeze ku musolo gwo, okuviira ddala ku mukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija, ababaka ba Palamenti, kiraga nti tebanaba kwetegeka okuteeka musolo ku Mobile Money era balina okugyawo, okusinga, okunyigiriza bannayuganda.

Binno okubyogera, yabadde mu mukolo gw’okujjukira okudda g’Omulangira Nuhu Mbogo Kyabasinga, emyaka 123 egyakayita okuva mu buwanganguse mu ggwanga erya Zanzibar ku mukolo ogwabadde mu maka ge, e Kibuli.

Ebyafaayo bya Nuhu Kyabasinga Mbogo

Nuhu Kyabasinga Mbogo
Nuhu Kyabasinga Mbogo
  1. Yazaalibwa mu 1835 n’afa 1921 nga wa myaka 86 n’aziikibwa e Kawempe-Mbogo.
  2. Kitaawe ye yali Ssekabaka Suuna II eyafuga wakati wa 1832 okutuuka 1856.
  3. Nuhu Mbogo y’omu ku baana 218 Ssekabaka Ssuuna II be yazaala mu bakazi 148.
  4. Ebyafaayo biraga nti Mbogo ye yalina okulya Obwakabaka nga Ssekabaka Ssuuna akisizza omukono kyokka Nnamulondo yagirekera muto we Muteesa I, kubanga ye yali asazeewo okusoma eddiini y’Obusiraamu eyaleetebwa Abawarabu mu 1844.
  5. Omulangira Mbogo yali muganda wa Ssekabaka Mutesa I eyali azaala Ssekabaka Danieri Basammula-Ekkere Mwanga II Mukasa.
  6. Omulangira Mbogo yawang’angukira e Zanzibar mu 1890 olw’entalo z’eddiini ezaaliwo mu Buganda wakati w’Abasiraamu n’Abakiristaayo.
  7. Mbogo yakkiriza okudda ku butaka n’abagoberezi be mu 1892 oluvannyuma lw’enteeseganya ne Capt. Lugard eyali akiikirira Abazungu abafuzi b’amatwale. Mu ndagaano eno Mbogo yakkiriza okubeera wansi w’Abangereza era nti yali tajja kukaayanira Bwakabaka,.
  8. Enteeseganya za Mbogo ne Lugard ze zavaako Abasiraamu okuweebwa amasaza asatu; Busujju, Ggomba ne Butambala basengemu wadde oluvannyuma Gomba ne Busujju gaabaggyibwako ne basigaza Butambala.
  9. Mbogo ye yazaala Omulangira Badru Kakungulu Wassajja, eyamusikira mu 1921 nga wa myaka 14 gyokka nga jjajja w’Obusiraamu. Kakungulu yafa mu 1991 n’asikirwa Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu e Kibuli.