Bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), batabukidde Gavumenti okutta bannayuganda ng’ekigenderedde n’ekigendererwa ekitanamanyika.

Aba FDC nga bakulembeddwamu Pulezidenti w ekibiina kyabwe, Amuriat Oboi Patrick, Gavumenti eremeddwa okuteeka eddagala mu malwaliro okuli erya seputulini (Septrin) eriweweeza ku bulwadde bwa siriimu n’okuyamba abakyala b’embuto, ekiringa ekigendereddwamu okutta abantu.

Amuriat bw’abadde eyogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala enkya ya leero, yewunyiza omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni okulagira ababaka ba Palamenti okubagulira emmotoka empya okutambulizaako abakuumi babwe nga bannayuganda embeera yabwe eyongera kubiggya.

Agamba nti ssente z’okugula emmotoka, Gavumenti yandibadde esoosowaza obulamu bw’abantu nga bafuna eddagala malwaliro okusinga okubaleka okufa.

Paul Mwiru
Paul Mwiru

Amyuka omwogezi w’ekibiina kya FDC Paul Mwiru era omubaka wa Paalamenti e Jinja East, Paul Mwiru agambye nti bbo nga aba FDC tebetaaga mmotoka wadde abakuumi kuba kigendereddwamu kwonoona nsimbi zamuwi wa musolo.