Omulamuzi Mary Babirye owa Buganda Raod enkya ya leero, atandika okuwuliriza emisango egivunanibwa, omuwala Lilian Rukundo, omuyizi ku Uganda Christian University (UCU) mu disitulikiti y’e Mukono.
Lukondo, yagulwako emisango egyenjawulo omuli okusasaanya obuseegu olw’okufulumya akatambi ng’ali bukunya n’okuzanyisa engalo ze mu bitundu by’ekyama n’ekigendererwa eky’okulumya buli akalabako.
Nga 9, July, 2018, Lukondo yakkiriza emisango egyo, kyoka sabiti ewedde ku Lwokutaano, nga 13, July, 2018, emisango gyonna yagyegaana oluvanyuma lwa katambi ke, okuzanyirwa mu kkooti, wadde baali, bamukomezawo mu kkooti omulamuzi okumuwa ekibonerezo, ekigwanidde.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Emily Ninsiima, bagamba nti balina obujjulizi bwona, Lukondo okumusingisa emisango egyamuguddwako.
Omuvunaanibwa (Lukondo), agenda kuva ku Limanda mu kkomera erye Luzira gye yasindikibwa, sabiti ewedde ku Lwokutaano.