Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo alangiridde Konsati nti 4, January, 2019 mu Kampala ku Serena Hotel.

Kenzo nga yakulembera ekibiina kya Big Talent agamba nti konsati egendereddwamu okujjaguza emyaka 10 ng’ali mu kisaawe ky’okuyimba.

Kenzo ng’amannya ge amatuufu ye Edirisa Musuza mu Uganda ye muyimbi yekka alina engule ya Bet Award olw’ennyimba ze ezenjawulo omuli Sitya Loss, Zigido, Mbilo Mbilo, Jambole, Dagala, Nze Mutuufu n’endala, ekimufudde omuntu ow’enjawulo nnyo.

Bw’abadde awayamu naffe agambye nti konsati etumiddwa “10 years of Eddie Kenzo” mu Uganda n’ensi yonna.