Ensonga z’omuvubuka Brian Isiko eyasibibwa nga agezako okupepereza omubaka omukyala owe Kabalore Sylvia Rwabwogo zongedde okulanda era abantu abenjawulo bavuddeyo okusonda ensimbi okusobola okumuggya mu kkomera.

Abavuddeyo kuliko omubaka wa Palamenti omukyala ow’e Namutumba Mariam Naigaga, munnamagye eyawumula Regan Muganza, famire y’omuvubuka, abantu babuligyo era basabye Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga ayingire mu nsonga zabwe mutabani waabwe ayimbulwe nti, okukwana omuntu si musango.

Isiko muyizi ku YMCA e Jinja yasindikiddwa mu kkomera e Luzira, olw’okusingibwa emisango okuli ogw’okutulugunya n’okulebula omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kabarole, Sylvia Rwabogo.

Isiko muyizi ku YMCA e Jinja yasindikiddwa mu kkomera e Luzira, olw’okusingibwa emisango okuli okulebula omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kabarole, Sylvia Rwabogo, okukozesa obubi essimu ye mu maaso g’omulamuzi Gladys Kamasanyu.

Omubaka Sylvia Rwabwogo
Omubaka Sylvia Rwabwogo

Isiko emisango yagikkirizza era omulamuzi n’amusindika mu kkomera e Luzira yeebakeyo emyaka ebiri n’emyezi mwenda.

Omubaka Rwabwogo yeekubira enduulu mu kkooti ng’alumiriza Isiko nti abadde ayitirizza okumukubira essimu mu ttumbi n’okumusindikira obubaka ng’akozesa obugambo obuwoomerevu ng’amusaba abeere omwagalwa we.

Mu kkooti, omubaka Sylvia Rwabwogo yategezeeza nti poliisi y’oku Palamenti yamuwa omuserikale eyannyamba okupanga olukwe lw’okukwata Isiko.

Abantu abakulembeddemu okunoonya ssente bagamba nti Isiko talina musango kuba omubaka Rwabwogo yalina eddembe okukkiriza oba okugaana.